Abasuubuzi ne lukululana ezisaabaza eby’amaguzi ku nsalo ya Uganda ne
DRC bakonkomalidde ku nsalo oluvanyuma lw’olutindo e Mpondwe olugatta
amawanga gombi okumenyeka ne luggwamu.
Abasuubuzi bano bagamba bafiiriiddwa ekimala era olunwe balusonze mu kitongole ky’enguudo ekya UNRA.
Trailer ne loole ezisoba mu 30 zeziri ku mabbali g’ekubo nga
balindirira ekikolebwa okulaba nga basobola okusaza ebintu byabwe. Guno
si gwe mulundi ogusoose olutindo luno okuggwamu, nga lwaggwamu emyaka 10
egiyise liddabirizibwa.