Omuntu omu akubiddwa essasi n’afiirawo ate omulala nabuukawo n’ebisago ebyamaanyi mu ttawuni ye Busia poliisi bwekubye mu bantu amasasi wamu ne ‘Tear Gas’ okugezaako okugumbulula abatuuze ababadde balumbye poliisi okukuba eyabadde ateberezebwa okuwamba omwana.
Eyafudde ye Fred Musiba omutunzi w’ennyanya mu katale ka Sofia ne Musa Mayende eyalumizddwa nga yawereddwa ekitanda mu ddwaliro e Tororo n’ebiwundu ebyamaanyi ku kisambi.
Olutalo lwavudde ku lugambo olwatambudde nga bagamba nti waliwo omusajja eyabadde akwatiddwa mu ppaaka ya Takisi e Busia n’omwana nga amutadde mu kisawo natwalibwa ku poliisi ye Busia bwebatyo nebalumba poliisi nga bagisaba omusajja ono bamwekolereko wabula poliisi negaana. Abatuuze batandise okukasukira abasirikale ba poliisi amayinja ekyaletedde poliisi okubakubamu omukka ogubalagala n’amasasi okubagumbulula.
District Police Commander, Mr Eriya Elepot, yakakasizza kino wabula n’agamba nti omusajja ono munansi wa kenya teyasangiddwa na mwana yenna wabula yabadde n’ensawo ennene nga anoonya nyumba yakupangisa.