Omu ku baatega Bomu e Lugogo asingisiddwa omusango

Omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala Alphonse Owiny – Dolo asingisizza Ahmed Isa Luyima omusango gw’okutega bomu omwafiira abantu abasoba mu 70 mu 2010 e Lugogo ne Kabalagala .

Omulamuzi okuwa ensala ye asinzidde ku bujulizi obw’amasimu agaakubwanga agafulumiziddwa ku lupapula nga Luyima awuliziganya  ne banne  e Somalia wamu n’akatabo k’amasimu ga beyakolagananga nabo  ebyafunibwa ng’akwatibwa e Nairobi .

Ayongedde okuzuula obujulizi ku Muhamood Mugisha ne Edris Nsubuga abavunaanibwa mu musango gwegumu nga baali beegaana emisango gyonna .

Bano bombi Mugisha ne Nsubuga bakakasizza nti baakolagananga butereevu ne Luyima okuggusa omulimu guno ogw’okutega Bomu nga yabasindikiranga ne ssente okuyambako enteekateeka nga kw’ogasse n’okufuna bomu bbiri okuva ewuwe e Namasuba gyeyali apangisa .

Omulamuzi mu nsala ye ayongeddeko nti Luyima nga yeeyogedde yeetondera omulamuzi nga bweyali ensibuko era  namuziga eyeetoololerwako obutemu buno .

 

Leave a Reply