Omubaka wa Bunya East mu Disitulikiti y’e Mayuge, Waira Kyewalabye
Majegere mu kifo ky’okukunga abantu bakwate enkumbi, ejjambiya
n’ebitiiyo bakole bulungibwansi, azze mu kuyiwa musaayi mbu agobe
emisambwa egibadde giviirako abantu okufa n’okubalemesa okulima
oluguudo. Bino byabadde ku kyalo Ivugunu ne Kikubo mu ggombolola y’e
Buwaaya mu disitulikiti y’e Mayuge.
Majegere yabadde aleese kkampuni emu okukola oluguudo luno kyokka abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebe w’eggombolola
y’e Mungwe, Sulaiman Kato ne bamutegeeza nga bw’atawaanira obwereere
kubanga waliwo omusambwa ogwabalemesa okulima oluguudo luno nga n’oluusi
gutta abantu abayitawo.
Naye kye yakoze kwe kutumya enkoko ne bagisala kye yayise okusabira omusambwa guno.
Abamu ku bataka baabasekeredde nga bagamba nti ebbanga lye bamaze ku
nsi erisukka mu myaka 55 tebalabangako ku muntu aleese ttulakita okulima
oluguudo luno nga n’abantu abasoba mu 10 be baakafiirawo.