Omubaka Lutamaguzi alabudde Gavumenti ku kutondawo zi Disitulikiti empya

Omubaka mu Palamenti owa Nakaseke ey’amaserengeta, Ssemakula Lutamaguzi asabye Gavumenti ya Yuganda okukomya okutondatondawo ebifo by’obufuzi omuli zi Disitulikiti , Konsituwensi wamu n’ebibuga abya Munisipalite ebyetaagisa abakulembeze ab’enjawulo ngabano beetaaga okusasulwa obutitimbe n’obititimbe bw’ensimbi ezitaliiwo nekiviirako emirimu gya Gavumenti okuzinngama.

Lutamaguzi agamba nti kyennyamiza okulaba nga Gavumenti egenze eteekawo ebifo bino  ebiwererako ddala nga kakati mu kiseera kino waliwo n’enteekateeka z’okuddamu okulonda okuteekawo abakulembeze mu bifo ebyo ate nga empeereza mu bantu yeeyongera kukonziba.

”Abantu beebamu abakaaba nti bali bubi ate beebasaba Disitulikiti buli lunaku, ssente zaalibadde zisobola okikolamu emirimu emirala kuba buli lw’oteekawo Disitulikiti oteekawo ba CAO, ba Disitulikiti Engeneer, ne bu Disitulikiti obumu bukyali mu mizigo , obulala bukolera wansi wa miti”. Omubaka Lutamaguzi Ssemakula.

Omubaka ono alaze n’obwennyamivu ku misolo egirinnyisibwa buli kaseera nga ne mu malwaliro temuli ddagala, kyokka nga Gavumenti eyongera kwewola nsimbi.

Leave a Reply