OMUBAKA NAMBOOZE ADUUKIRIDDE OMUSOMESA ENKUBA GWEYAYONONERA ENNIMIRO

Omubaka wa Mukono Municipality mu Palamenti Nambooze Betty Bakireke Munnakibiina kya National Unity Platform yekokkodde embeera embi abasomesa gye balimu mu Uganda oluvannyuma lw’omuggalo ogwalangirirwa Gavumentii mu kulwanyisa ekirwadde Covid-19.
Betty Nambooze okwekokkola bwati abadde mu makage e Nakabago mu Mu kibuga ky’e Mukono bw’abadde asisinkanye omusomesa Shadia Nakafeero owa Waguma Junior School e Bamugolodde mu district y’e Nakasongola gwe yalabye ku TV ng’akaabira ennimiro ye eyayonooneddwa ekire ky’enkuba.
Agamba nti obulamu bw’abasomesa na ddala mu masomero g’obwannannyini mbi nnyo era yakwatiddwaako okulaajana kw’omusomesa oyo n’asalawo amunoonye abeeko engeri gy’amuyamba.
Omubaka wa Mukono Municipality Nambooze Bakireke agamba nti gavumenti yandibaddeko ekintu kye yeesibako n’ekikola bulungi mu kifo ky’okuwambagatanya,bwatyo n’asiima abatandisi b’amasomero g’obwannannyini olw’okukusomesa abaana ba Uganda.
Omusomesa Shadia Nakafeero yeziribanze nga yeebaza omubaka Betty Nambooze olw’okumuwa ebintu ebikalu omuli emmere ne silingi akakadde kamu.
Leave a Reply