Omubaka Rukaari abatuuze bamugobezza emiyini n’enkumbi byabadde abatwalidde

Abatuuze be Bunusya Ward mu Mbarara City North Division bavudde mu mbeera nebagoba Omubaka waabwe Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM, Robert Mwesigwa Rukaari nebazira n’enkumbi zeyabadde aleese okubagabira nga bamulanga obutatuukiriza bisuubizo byeyakola nganooya akalulu ka 2021 omwali obatuusiza amasanyalaze mu kitundu kyabwe.
Rukaari nga kino kyekisanja kye ekisooka abadde nga awagira ebyobulimu ngayita mukugaba enkumbi, ensigo z’ebikajjo, emiti gyamuwogo n’ebirala wabula abatuuze ku luno bamutegeezezza nti baagala masanyalaze si bikozesebwa mu bulimi.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply