Omubaka Ssegiriinya akomyeewo mu Ggwanga

Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr Updates akomyeewo mu Ggwanga okuva e Netherlands gyabadde afunira obujanjabi. Omubaka Ssegiriinya avuddeyo nalaga obutali bumativu bwe eri abantu ababadde bagamba nti si mulwadde abadde ali ku bubaddi, nategeeza nti abantu bano babi nnyo n’okusinga abakomerera Yeesu nga mu bano mulimu ne Bannakibiina kya NUP nga Alex Waiswa Mufumbiro.

Leave a Reply