Omubbi wa Bodaboda akumiddwako omuliro – Masaka

Ateeberezebwa okuba omubbi wa Bodaboda akubiddwa emiggo egimuserengesezza ekalannamo n’omulambo gwe negukumwako omuliro abagoba ba Bodaboda ababadde tebasalikako musale mu kibuga Nyendo e Masaka. 

Attiddwa wamu ne munne asobodde okusimattuka amagombe, bagambibwa okuba nga baapangisizza owa Bodaboda abatwale mu kifo ekimu ku luguudo olugenda e Bukakkata, naye bwebaatuuse mu kkubo nebamukyama mu kabaala nga bagamba nti bo bamala kunywamu ku kenge balyoke beeyongereyo.

Omusasi waffe e Musaka, Margret Kayondo atutegeezezza nti ababbi bano baatadde kalifoomu mu by’okunywa by’omugoba wa Bodaboda oluvannyuma nebakuuliita ne ppikiye .

Leave a Reply