Omusajja Alex Lukwago eyatoloka mu kkomera ekkulu e Masaka akubiddwa essasi mu kabina bw’akwatiddwa lubona ng’abba amatooke mu nnimiro y’ekkomera .
Alex eyali yaweeba ekya Katikkiro ng’akyali mu kkomera lino ery’e Butenga abadde akomawo mu bubba n’abba amatooke okuva mu Lusuka lw’ekkomera lino wabula nga ku luno akwatiddwa lubona ekyasi nekimulya .
Omusasi waffe okuva e Masaka Margret Kayondo agamba nti omu ku baserikale b’ekkomera lino yasazeewo okusula mu nnimiro eno ng’akuuma era yabadde ali awo ku maliiri nga Lukwago agguse n’atema ettooke erisooka wabula yabadde atema eryokubiri n’amukuba ekyasi mu kabina nga kati omusajja ono addusiddwa mu ddwaliro eriri okumpi bamusokoolemu essasi .