Omubiri gw’omugenzi Jakana Sulaiman Nadduli gutwaliddwa mu Ddwaliro lya Gavumenti e Nakaseke okuzuula ekituufu ekyamusse. Kino kidiridde ekiragiro okuva mu Gavumenti ng’essaawa yonna gusuubirwa okukomezebwawo guziikibwe ku kyalo Kaddunda, Kapeeka mu Nakaseke olwaleero, singa tewabaawo kikyuuse.
Omubiri gwa Jakana Gavumenti eragidde gukolebweko postmortem
