Omulambo gwa Munnayuganda eyafiira mu Musisi eyayita mu Ggwanga lya Butuluuki, Florence Babirye enzaalwa y’e Lwengo gutikiddwa ku nnyonyi okukomezeebwawo ku butaka. Omubaka wa Yuganda mu Ggwanga lya Butuuluki, Tiperu Nusula saako n’abakulembeze ba Bannayuganda mu Ggwanga lino babaddewo ng’omubiri gw’omugezi gutikibwa ku nnyonyi.