Omubiri gwa Oulanyah gutwaliddwa mu Palamenti olwaleero
Ababaka ba Palamenti okuva mu bibiina eby’enjawulo enkya yaleero bakedde ku Palamenti okubaawo mu lutuula olugenda okusiima emirimu gya Sipiika Jacob Oulanyah gyakoledde eggwanga nga tanava mu bulamu bw’ensi.