Abasuubuzi abakolera ku kizimbe kya Mukwano Arcade bawuniikiridde omubuulizi w’enjiri ku luguudo bwe yeeyambulidde n’atandika okuliisa ekigambo kya Katonda ng’eno bw’ajuliza ekyawandiikibwa mu kitabo kya nnabbi Isaaya Banani.
Isaiah Banani abadde akutte Bayibuli bwe yeeyambuddemu engoye zonna n’asigala bukunya olwo n’atandika okubuulira enjiri ekiviiriddeko abantu okumukungaanirako nga beebuuza ekyamutuuseko.
Kino kyawalirizza akulira poliisi ya Mini Price, Fabiano Baryayamba okugenda ku Mukwano Arcade n’akwata Banani n’amutwala ku poliisi okugezaako okumubuuza ekyamutuseeko nga balowooza nti yandiba nga yabadde alina ekizibu ekyamutuuseeko.
Banani olutwaliddwa ku poliisi agambye nti talina buzibu wabula yawulidde eddoboozi lya Katonda nga limugamba nti alina okubulira ekigambo kya Katonda nga tayambadde ngoye kwe kusalawo okuzeyambula alyoke abuulire.
Yagambye nti yasomye mu kitabo kya Yisaaya n’agamba nti yawulidde eddoobizi lya Katonda nga limugamba nti agende abuulire enjri eri abantu balokoke nga kino alina okukikola nga tayambadde lugoye lwonna.
Olutuusiddwa ku poliisi abasirikale bamulagidde okwambala mangu.
Oluvannyuma bamwongeddeyo ku poliisi ya CPS okusobola okwongera okumunoonyerezaako