Omugagga aguze ebyalo 3 e Namayumba abatuuze basattira, Minisita Nabakooba abiyingiddemu

Abatuuze abakunukiriza mu 1000 ku byalo 3 mu Gombolola y’e Namayumba mu Disitulikiti y’e Wakiso bavuddeyo nebalumiriza ba Ssentebe ba LC1, Uganda Police Force mu kitundu kyabwe wamu nabapunta b’ettaka okwekobaana babasengule ku ttaka erikayanirwa.
Enkayana ku ttaka lino ziri wakati w’abaana n’abazzukulu ba Gabudyeri Lubajja, n’abatuuze ku bibanja abasoba mu 1000 ng’ebibanja byabwe bisangibwa ku byalo okuli; Busamba-Kinyika, Kanziro-Gayaaza ne Ngodwe. Obuzibu bwatandika oluvannyuma lwabamu ku baana okusalawo okuguza Berna Nakato ekitundu ku ttaka lino.
Ettaka erikayanirwa liri Busiro Block 53, Plot 15, ngaliweza yiika 1,044.9. Mu lukiiko lwebyokwerinda olwatudde ku Kyalo Busamba, abatuuze ababadde bataamye obugo bategeezezza Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka Judith Nabakooba nti bawangalira mu kutya kuba abamu ku Bakannyama Nakato bweyaleeta babatiisatiisa nga babagamba okwamuka ettaka lyabwe.
Vicent Ssemujju, omutuuze we Ngondwe, agamba nti bakanyama abakuba enkambi ku kyalo batiisatiisa buli eyagaana okuwaayo ekitundu ku ttaka lye eri Nakato.
Bano bagamba nti Nakato ayagala ebitundu 70 ku 100 ku ttaka lyabatuuze era oyo agaana bamusuubiza okumubuzzaawo nokumukola ekikyaamu. Bano era bagamba nti Nakato yayogera ne RDC eyamuwa olukusa okugoba abantu bano.
Sarah Luzindana omutuuze e Busamba agamba nti Bakanyama batambula ne Ssentebe w’ekyalo eyabalagira okukwatagana n’abapunta oba balindirire ebinaddako.
Obuzibu bwatandika mu December 2022 Richard Ssemitala ne Eusterius Ssegantebuka, bwebatunda ekitundu ku ttaka lya Famire yiika 150 nebaziguza Nakato.
Wiiki ewedde abatuuze balumba Poliisi y’e Kawempe, nga bagirumiriza okubasuulirira wabula y’e District Police Commander (DPC), Hassan Katumba Mugerwa, yegaanye ebigambibwa nti babonyabonya abebibanja.
Ye RDC wa Wakiso Justine Mbabazi yategeezezza nti yabadde takimanyiiko nti abebibanja batulugunyizibwa Poliisi. Minisita Nabakooba yekanze ettaka lyeyateekako Caveat obutabaako kigenda mu maaso kyonna mu December 2022 nti ate bakyaligobako abantu. Yakitegeerako nti Nakato yali yafuna yiika 200 ku ttaka lyerimu ku Block 53.
Minisita Nabakooba agamba nti era yewuunyizza Nakato okumutegeeza nti yabadde yafulumizza ebyapa 33 eri abalina ebibanja ku ttaka lino ekikontana n’omusango ogugenda mu maaso mu Kkooti wamu n’ekiragiro kya Minisita.
Minisita Nabakooba yalagidde Regional Police Commander okukwata Bakanyama bonna aabagalire era nalagira obutaddamu kulaba kanyama yenna ku ttaka lino. Nakato yegaanye okyokubeera ne Bakanyama nagamba nti bali Bapunta ba ttaka lye.
Olukiiko lwakizudde nti okulwanagana ku ttaka lino kuli wakati wa famire era Minisita nalagira aba Famire okumala ensonga zaabwe okusinga okutiisatiisa ab’ebibanja.

Leave a Reply