Mukyala w’omukulembeze w’eggwanga era Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Hon. Janet Kataaha Museveni; “Nsisinkanye era nenyaniriza ekirowoozo kya Dr. Elmar Wolff, Omusinga nsimbi okuva mu Ggwanga lya Bugirimaani ayagala okutandikawo ‘Technical University’ egenderera okutendeka abayizi nga yesigamye ku ‘Practicals’ mu Yuganda.
Yunivasite eno yakuwa abayizi sikaala nga ziwagiddwa abantu ba Bugirimaani eri Bannayuganda abatalina nsimbi zakusoma Yunivasite.
Abayizi bakuweebwa ddiguli ezikirizibwa mu Yuganda ne Europe.”