Omugoba wa Takisi nnamba UAW 346T atannategeerekeka mannya asimattuse okugajambulwa wadde akubiddwamu abantu ababadde beesomye ku Kalerwe oluvannyuma lw’okutomera ow’akagaali n’ayisibwa bubi nnyooo.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba nti omugoba ono abadde avuga ndiima emmotoka n’eremererwa okusiba okukakkana ng’asaabadde ow’akagaali era addusiddwa mu ddwaliro e Mulago nga biwala ttaka. Ye owa Takisi yeesimattudde ku bantu ababadde beesomye nga batandise okumukuba n’assaako kakokola tondeka nnyuma.