Omuwaabi wa Gavumenti Birivumbuka Richard ategeezezza Kkooti olwleero nti Ssenyonga Wilson ng’omulu yeyita Tony Nyonga 25, nga Munyarwanda omutuuze ku kyalo Kamanzi mu ward ye Mitooma mu Disitulikiti y’e Lwengo babadde nga bamulina mu kaduukulu ka Uganda Police Force nga akyabayambako okuzuula obujulizi nti era mu sitaatimenti gyeyasooka okukola yategeeza bambega ba Poliisi nti Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP Ssegiriinya ne Ssewanyana nga bwebabalagira okutta abantu mu bitundu by’e Masaka.
Nti bano balina ekigedererwa kyokutabangula Eggwanga nga bawakanya ebyava mu Kalulu nti era enkiiko zonna zatuulanga mu Kampala mu Ndeeba okuliraana akayanja ka Kabaka.
Wabula kinajjukirwa nti mu lutuula kwa KKooti olwaggwa Omuwaabi wa Gavumenti yategeeza Kkooti nti ekibalwisizza okusindaka Ababaka bano mu Kkooti Enkulu kwekuba nti bakyalina omuntu gwebanoonya nga ye Ssenyonga Wilson nga yalina okuwa obujulizi ku babaka nti naye yali yabulira mu Kkomera.
Ababaka bavudde mu mbeera nebatabukira omuwaabi wa Gavumenti olwokubakuumira mu kkomera ngatalina bujulizi nebatuuka n’omualangira essuuti enzirugavu gyatavaamu. Omubaka Sewanyana asabidde Yuganda Katonda agiwe ekiwummulo eky’emirembe.