Omukago gw’amawanga ga Bulaaya guliko obuyambi bwa Ssente za Bulaaya obukadde obukunukkiriza mu 151, bweguwaddeyo eri Gavumenti ya kuno okulabirira n’okukulaakulanya abantu b’omumambuka ga Yuganda.
Ensimbi zino zaakukwasizaako mu kulwanyisa obwavu mu bantu abawangaalira mu bitundu bino, okubafunira amazzi amayonjo n’okubasimira ebidiba by’amazzi ne nayikondo kwebasobola okufunira amazzi ag’okufukirira ebirime n’okunywesa ebisolo byabwe, ebyobulamu, ebyendiisa eyomulembe n’ensonga endala nga Pulojekiti eno yaakutambula okutuusa mu mwaka gwa 2023.
Bw’abadde ayogerera mu lukungaana lw’abakugu abagenda okulondoola n’okuvujjirira ensimbi zino ku yaafesi ya Ssaabaminisita mu Kampala, Omubaka w’omukago gwa Bulaaya mu Yuganda, Attilio Pacifici, agambye nti basazeewo okusoosowaza ekitundu kino kubanga kibaddemu ebizibu bingi omuli entalo, omujjuzo gwabanoonyi b’obubudamu, obwavu n’ensonga endala nnyingi.
Ebiwandiiko biraga nti abantu ebitundu 32.5% abawangaalira mu Mambuka ga Yuganda babeera mu bwavu obutagambika nga omuwendo guno gusinga ogw’abaavu mu Yuganda yonna oguli ku bitundu 21.2%.
Ssaabaminisita wa Yuganda, Dr Ruhakana Rugunda, agambye nti obuyambi buno bujjidde mu kiseera nga Yuganda ekyali mu katu k’okukulaakulanya abantu b’omumambuka, nga n’embeera gyebayitamu ekyayongera okweraliikiriza.
Dr Rugunda agambye nti ekifo ky’omumambuka ssinga kiterezebwa n’okubukalamu emirembe Yuganda yaakutuuka ku birooto by’enkulaakulana eby’ekyasa, wabula n’asima obuyambi okuva mu mukago gwa Bulaaya.
Mungeri y’emu Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga z’abantu b’omumambuka ga Yuganda, Grace Kwiyucwinyi, alabudde abakulembeze ba Gavumenti z’ebintudu abagenda okukwasibwa obuvunaanyizibwa okutambuza Pulojekiti nga bwezigerekeddwa mu nteekateeka y’ensimbi zino .