Police mu Disitulikiti y’e Kalungu ewonyezza musajja mukulu ow’emyaka 45 okugenda ekalannamo oluvannyuma lw’okubanga mukazi we n’omwana baamusibira mu nnyumba okumala emyezi ena.
Charles Lwanga kigambibwa nti mukazi we Betty Ndagaano ow’emyaka 40 ne muwalawe amanyiddwa nga Fouster Nabawanda ow’emyaka 23 baamuwamba nebamusibira mu nju ku kitanda nga bakozesa enjegere nga baagala afe beddize ebintu bye.
Wabula abooluganda lwa Lwanga nebatemya ku Police ezze obukubirire okutaakiriza obulamu bwa bwe.
Omusasi waffe mu bitundu by’e Masaka ne Kalungu, Margret Kayondo ayogeddeko n’omwogezi wa Police mu maserengeta ga Buganda , Nandawula Dayana n’akakasa bino.