Police e Kalangala ekutte era n’eggalira omukyala nakampaata amanyiddwa nga Natale Annet ow’emyaka 40 ng’emulanga kusendasenda mulenzi wa myaka 15 n’amutunuza mu mbuga ya Sitani .
Nantale nga mutuuze ku kyalo Bujumba – Kyondo kigambibwa nti ennaku bbiri eziyise bweyali ava okunywamu ku mwenge awo nga mu ssaawa eza kawoza masiga yasanga omwana ono n’amutwala mu lusuku n’atanula okunyumya naye akaboozi k’ekikulu era wano nga y’akava mu kikolwa kino yalabibwa omu ku batuuze eyategeerekeseeko erya Kapeeka era ono n’abagulizako Police .
Twogeddeko ne Muwonge bba mukaya Annet kyokka n’awakanya eby’okukwata omwana era n’agamba nti ezo mpalana zaabwe ne Kapeeka nti zirudde okuva lweyamutwalako omwana .
Wabula ye akola ku kugatta Police n’omutu wabuljjo ku kitebe kya Police ‘e Kalangala , Ngandu James akakasizza okukwatibwa kwa Nantale naye n’asuubiza nti yo nga Police egenda kukola okunoonyereza era bwekinaazuulibwa nga kituufu omukyala ono ajja kutwalibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe .