Abantu abasinga bayinza okulaba nga 5000 ssente entono , naye zino zeeyimbisizzaamu omukazi ogw’akabugu e Jinja lwakulemererwa kuziweza zimuyambeko ku ntambula emuleeta e Kampala .
Kigambibwa nti omukazi ono yeegayiridde abagoba ba Takisi abawera abana bamuleete e Kampala ku 2000 /= z’abadde nazo naye okusaba kwe nebakutunuulira kyamuli ng’essalambwa ery’enseke era oluvannyuma wayiseewo akaseera katono ddala omukazi ono n’asangibwa nga yeetugiddde mu muti gw’omuyembe oguliraanyewo