Aba DP-Bloc bavuddeyo olunaku olwaleero nebategeeza ng’enteekateeka z’omukolo kwebagenda okulangiririra ekiddako olunaku lw’enkya ku Malibu Gardens e Namirembe – Bbakuli ziwedde era ng’olunaku olwaleero abakulu mu Uganda Police Force batuuseeyo okulambula ekifo. Omubaka wa Nnyendo – Mukungwe Owek. Mathias Mpuuga Nsamba ye mugenyi omukulu.
Bya Nasser Kayanja