Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, Omumyukawe Oweek Ahmed Lwasa, Minisita w’Olukiiko ne Kabineeti n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, omuwandiisi w’olukiiko lwa Buganda, Omuk. David Ntege, batuuse ku mbuga ye Ssaza Butambala e Kabasanda gyebagenze okutuuza olukiiko lwa Buganda n’ekigendererwa eky’okulambika olukiiko lw’e Ssaza Butambala ku nzirukanya entuufu ey’olukiiko omuli; ennyambala, enjogera n’enteesa ewa abakiise ekitiibwa.
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda agenze Butambala
