Omukulu w’essomero mu kibuga ky’e Nnyago ekisangibwa mu Disitulikiti y’e Mayuge agombeddwamu obwala Police oluvannyuma lw’okuwasa omuyizi we owa P.7 nga wa myaka 15 .
Eyagu Farouk atemera mu gy’obukulu 25 era nga bazasdde b’omuwala baawaabye ku Police oluvannyuma lw’omwana ono omuwala okubula ng’ amalirizza ebigezo by’ekibiina ekyomusanvu.
Ayogerera Police mu bitundu by’e Busoga, Moses Mubi yaabuulidde Luboggola Simba nti omwana ono baamusanze mu maka ga Eyagu nga atakosa matooke era bwebatyo Eyagu egigye nebagizza gyegitaliira ntungo . Mubi avumiridde ekikolwa kino n’agamba nti omukulu w’essomero eyaalibadde ataasa omwana ate y’amuzzeeko okumukekevvula.