Omukungu aggyeeyo basitoola mu Lukiiko e Lango

Abebyokwerinda wamu n’abantu babulijjo basanze akaseera akazibu bwebabadde bagezaako okuggya emmundu ekika kya basitoola okuva ku eyali omumyuuka w’Omubaka wa Uganda mu Ggwanga lya Amerika Dickson Ogwang Okul eyabadde avudde mu mbeera mu lukiiko lwebabaddemu mu Lango Cultural Centre mu Kibuga Lira.
Mu lukiiko luno abakulu babadde batudde okuteekateeka abakungu okuva mu Lango abanetaba mu Ateker Festival egenda okubeera mu Kibuga Soroti nga 26 November, 2024.
Okul ngayabadde tayitiddwa mu Lukiiko yazze mu Lukiiko luno n’abakuumi 2 era nebasaba alwamuke wabula mu busungu obungi yaggyeeyo emmundu.
Okul akola nga Charge dā€™ Affaires e Khartoum mu kaseera kano.
#ffemmwemmweffe

Leave a Reply