John Kiwanuka, nga ye Principal Meteorologist ku Uganda National Bureau of Standards – UNBS addusiddwa mu Clinic ya Palamenti ettuntu lyaleero oluvannyuma lwokuzirikira mu Kakiiko ka COSASE akabadde kamukunya ku mivuyo egiri mu kitongole kyakulira.
Akakiiko ka COSASE akakubirizibwa Omubaka Joel Ssenyonyi kali mu kunoonyereza ku nsonga ezanokoddwayo mu alipoota ya Auditor General eyomwaka gw’ebyensimbi 2021/2022.