Omukyala azaalidde ku luguudo e Gulu

Eunice Abere 27 omutuuze w’e Iriaga East mu Bardege-Layibi Division ku lunaku olwokusatu yazedde omwana mulenzi oluvannyuma lw’ebisa okumulumira booda booda nga atwalibwa mu Ddwaliro lya Gulu Regional Referral Hospital nazaalira ku mabbali g’oluguudo. Owa booda booda Maurice Odoch eyabadde asazeewo okumuyamba amufunire emotoka agafemulago  alojja kyeyayiseemu; “Embeera gyenayiseemu yabadde nzibu nnyo.Nagezezzaako okuyamba nenziruka mangu nnyo okutuuka ku Ddwaliro lya Gulu Regional Hospital okufuna obuyamba wabula nebakantema nti emotoka agafemulago yabadde teriimu mafuta. Eky’enaku n’essimu ya ddereeva yabadde teriiko. Bwenagenze ku waadi ya mateneti, bantegeezezza nti abasawo bonna baabaddeko byebakola nga tebasobola kufuluma ddwaliro kugenda kuyamba muto ali kukubo.

Aber yabadde abuzaayo ekitundu kitono nnyo okutuuka ku ddwaliro era nga yazaalidde okuliraana Gulu Regional Blood Bank. Embeera gyeyabaddemu nga tewali ayamba yeyaleetedde abasawo ku Blood Bank okujja okumuyamba okuzaala.

Aber yatwaliddwa mu Ddwaliro lya Gulu Regional Referral Hospital oluvannyuma lwokuzaala nga bakozesezza emotoka agafemulago eya Uganda Red Cross oluvannyuma lwokulemererwa okufuna ey’eddwaliro.

Leave a Reply