Poliisi ku nsalo ya Yuganda ne Rwanda e Kyanika etandise omulimu gw’okunoonyereza ku ki ekyaviiriddeko omukyala ow’olubuto Mukarugwiza Elizabeth 37, okufa nga wakayita akabanga katono nga atuuse mu Yuganda. Kigambibwa nti ono yazze agobebwa ab’ebyokwerinda okuva wabula nabesimattulako nayingira Yuganda.
Ono abadde Mukyala wa Hakizimana Dan, omutuuze ku kyalo Kinigi, mu muluka gw’e Nyamirima, mu ssaza ly’e Musanza, mu Disitulikiti y’e Musanza e Rwanda.
Omukyala ono yafiiridde ku kyalo Rukoro, mu muluka gw’e Nyakabingo, mu ssaza ly’e Chah mu Disitulikiti y’e Kisoro.
Omwogezi wa Poliisi mu ttunduntundu ly’e Kigezi Elly Matte agamba nti ono yazze agobebwa Poliisi wamu n’amaggye g’e Rwanda bweyabadde ali ne banne nga basala okujja e Yuganda okugula emmere. Era bweyatuuse ku ludda lwa Yuganda naggwa nafiirawo.
Omubiri gw’omugenzi gukyakuumirwa ku Poliisi y’e Kyanika nga enteeseganya wakati wa RDC w’e Kisoro Ssengooba Ssekandi Shafiq wamu nab’ebyokwerinda okuva nsalo y’e Kyanika ku ngeri egenda okuyitibwamu okuwaayo omulambo gw’omukyala ono era ab’enganda ze.