Omulabirizi we Luwero omuggya Wilson Kisekka akyaddeko embuga n’olukiiko lwakulembera nalwo obulabirizi buno Abadde wamu ne Mukyala we, bannaddiini, abakulira amasomero g’Obulabirizi mu Bulemeezi n’abakristo ab’enjawulo. Bwaabdde amwaniriza e Bulange, Katikkiro ayozaayozezza omulabirizi Kisekka olwokulondebwa mu kifo kino era nga obwakabaka bumulinamu essuubi ddene okutambuza emirimu gya Mukama Katonda. Amutegeezezza nti obukulembeze bujjiramu ebisoomooza, naye amusabye ateme empenda okuvvuunuka ebisomoozo naddala ebyo ebiri mu buweereza bwayolekedde wakati mu kuyambagana, n’okuweebwa amagezi. Ku nsonga ya mukenenya, asabye omulabirizi okwenyigira mu kaweefube w’okulwanyisa mukenenya mu Ssaza Bulemeezi kubanga ebibalo biraga nti Bulemeezi lye ssaza omusinga abasajja abakabasanya abaana abawala ate n’okulinnya kw’abantu abakwatibwa akawuka kuli waggulu. Mu bigambo bye, Omulabirizi Wilson Kisekka, asuubizza okutambulira wamu n’Obwakabaka okulaba nga enteekateeka z’Obwakabaka ez’okukulaakulanya abantu, omuli emmwanyi terimba, eby’obulamu, eby’enjigiriza, nokulyowa omwoyo ziyitimuka mu banna Bulemeezi. Obulabirizi buguze emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gya bukadde 3.