Entiisa ebuutikidde abatuuze ababeera ku lubalama lw'omugga Itanda ogusangibwa omu ggombolola y'e Butagaya mu Disitulikiti y'e Jinja omulambuzi bw'asirittuse n'agwa mu mugga era n'afiiramu.
Omugenzi abadde amanyiddwa nga Alamanzan Katende nga abadde yavudde Masaka aggye naye anyumirwe ku biyiriro bino wabula Katonda teyamuganyizza kudda ka era kati z'embuyaga ezikaza engoye
Wabula Ssentebe wa NRM mu muluka gw'e Nakakulwe , Brian Nsubuga atutegeezezza nti omulambuzi yabadde atamidde !!