omulamuzi agaanye okuwa kiconco ekiragiro ekigaana ab’omu lusanja okuzimba

Omulamuzi wa Kkooti enkulu mu Kampala etawulula enkaayana z’ettaka Samuel Emolot yagaanye okuwa Medard Kiconco ekiragiro ekiyimiriza abatuuze be Lusanja okuzimba. Kiconco yabadde asabye omulamuzi okugira ng’ayimirizza abatuuze okuzimba okutuusa nga Kkooti emalirizza okuwulira omusango gwa nnannyini ttaka ly’e Lusanja omutuufu.
Kiconco yagambye nti singa kizuulwa nti ettaka lirye ate ng’abatuuze baddamu dda okuzimba kijja kumutaataaganya okuddamu okumenya amayumba gaabwe omulundi ogw’okubiri ate abatuuze baddemu bafiirwe.
Wabula omulamuzi Emolot yagaanye okubaako ekiragiro kyonna ky’ayisa ku ttaka lino nga Kkooti tenneesitula kugenda kulirambula okuzuulira ddala ekituufu.
Abatuuze olwawulidde nti kkooti egaanye okubayimiriza okuzimba, ne bakuba enduulu n’okusaakaanya era ne bawera nga bwe bagenda okwongera okuzimba amayumba gaabwe gaggwe.
Abatuuze 128 nga bayita mu looya waabwe Erias Lukwago baaleese okusaba okupya mu kkooti nga baagala kkooti ebagatte kw’abo 12 Kiconco b’awawaabira nga bagamba nti ekiragiro kyonna kkooti ky’eneeyisa bwe kiba kikosa 12 nabo kijja kubakosa.
Bano era baategeezezza nti ekiragiro kya kkooti y’e Nabweru Kiconco kye yasooka okukozesa okumenya amayumba gaabwe kyaliko abantu 12 naye yamenya ag’abantu abasukka mu 150 abataali mu musango nga ku luno baagala bagattibwe mu musango bategeere byonna ebigenda mu maaso.
Omulamuzi Emolot yalagidde Lukwago okuwandiika byonna ebikwata ku bantu bano 120 era okusaba kwabwe ajja kuwulira nga April 15, 2019.
Gye buvuddeko Kiconco ng’akozesa wannyondo wa kkooti Moses Kirunda yamenya amayumba g’abatuuze b’e Lusanjja mu ngeri enkambwe ekyavaako Pulezidenti Museveni okwesitula n’atuuka ku ttaka n’agumya abantu nti Kiconco tali waggulu w’amateeka era ajja kukolebwako.
Wabula ye Kiconco yagambye nti omulamuzi obutamuwa kiragiro kiyimiriza bantu kuzimba ku ttaka lye akoze kikyamu kubanga omusango agenda kuguwangula era amayumba agaggyewo.

Leave a Reply