Omutegesi w’ebivvulu Andrew Mukasa aka Bajjo Eventz Clear Process aziddwayo e Luzira oluavnnyuma lw’omulamuzi abadde alina okuwulira okusaba kwe okwokweyimirirwa obutabaawo. Omulamuzi Stellah Amabilisi owa Kkooti ya Buganda Road tutegeezeddwa nti ali mu luwummula.
Omulamuzi w’eddaala erisooka Gladys Kamasanyu ategeezezza Bajjo nti alina kuddayo ku alimanda kumusobozese okwetegereza obulungi omusango gwe nga asoma mu fayiro yaagwo n’oluvannyuma akole okusalawo okwesimba ku kusaba kwe okwokweyimirirwa.
Bajjo ne Munnamateeka we Erias Lukwago basabye omulamuzi awe ekitongole kymakkomera ekiragiro ekisobozesa Bajjo okugenda okufuna obujanjabi obw’enjawulo kuba olubuto lumulumidde ebbanga okuva lweyakwatibwa wabula omulamuzi n’abategeeza nti Lukwago asabe Omulamuzi omukulu kuba yalina obuyinza okukola ekiragiro ekyo.
Oludda oluwaabi lulaga nti omwezi oguwedde Bajjo nga ali mu bifo eby’enjawulo nga e Masaka, Ibanda ne Kampala kigambibwa nti yakuma mu bantu omuliro basitukiremu bajjeko Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.
Kigambibwa nti ono yagenderera okutataganya eddembe ly’omukulembeze w’eggwanga bweyakwata akatambi ka Vidiyo nga akozesa essimu nategeeza nga bwagenda okujjako Gavumenti ya National Resistance Movement – NRM nga omwaka 2021 tegunatuuka.
Wabula Bajjo yegaana emisango gino. Bajjo yakwatibwa nga 15 – June ab’ebyokwerinda oluvannyuma lw’okungaana lwa Bannamawulire lweyali akubye ne munne Abbey Musinguzi aka Abtex nga boogera ku bivvulu bya Bobi Wine ebyali bisaziddwamu.
Ono wakudda mu kkooti nga July 11, 2019 wiiki ejja.