Omulamuzi Esther Kisakye Kitimbo agguddewo Buganda Royal Law Chambers ku Bulange

Omulamuzi Esther Kisakye Kitimbo agguddewo Buganda Royal Law Chambers ku Bulange.

Omulamuzi Kisakye agambye nti woofiisi eno egya kubeera nsaale mu kuyimirirawo kulw’abantu ba wansi naddala abatalina nsimbi kusasulira bannamateeka nga ekola n’obukugu n’omwoyo gwa ggwanga.

Ategeezezza nti bajjajja abalwanirira Obwakabaka entalo baazirwanisanga mafumu naye kati amafumu g’ennaku zino gali mu woofiis ezisalawo ne Kkooti.

Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti okutandikawo Woofiisi zino kijja kuyamba Obwakabaka kubanga bannamateeka bajja kubeera kumpi, era zijja kuyamba mu butaawukana ku mateeka.

Agambye nti guno mukisa munene nnyo eri Obwakabaka kubanga bwebunaaba bulwanirira federo bulina girwanirira nga buyita mu mateeka, okulwanirira okukuuma m’okutaasaNnamulondo, okulwanirira okukuuma ettaka n’ensalo za Buganda byonna bijja kolebwa nga tugoberera Ssemateeka n’amateeka.

Asabye Ssaabawolereza atandikire ku ky’okuzzaawo oluzzi Kalinda mu Ndeeba ku Kanisa eyamenyeddwa.

Omukolo gwetabiddwako Omumyuka wa Katikkiro Ow’okubiri, Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Baminisita ba Kabaka, bannamateeka okuva mu bitongole eby’enjawulo, Ba Ssenkulu b’ebitongole by’obwakabaka n’abakungu abalala abawerako.

Leave a Reply