Eyali amyuka Ssaabalamuzi, omulamuzi Steven Kavuma bamuloopye mu kakiiko akanoonyereza ku ttaka nti y’omu ku abeekomya ettaka lya faamu ya Gavumenti erya “Njeru Stock Farm” Gavumenti lye yali eguze okutumbula ennunda ey’omulembe.
Looya w’akakiiko Andrew Odit yaleese obujulizi bw’ebbaluwa eyakolebwa Kaliisoliiso wa Gavumenti nga bulaga nti Kavuma alina yiika 42 ez’ettaka lya Gavumenti.
Ettaka lino eriwezaako yiika 1066 lyali lya mugenzi Ham Mukasa wabula Gavumenti ng’eyita mu Minisitule y’ebyobulunzi yaligula ku liizi ya myaka 99 okuva mu 1954 ne batandikawo Njeru Stock Farm n’ekigendererwa ky’okwongera ku bungi bw’amata n’okusomesa abalimi ennima n’ennunda ey’omulembe.
Ku yiika 1066 gavumenti ze yagula, 504 n’okusingawo zaatwalibwa dda. Bannabyabufuzi n’abagagga abalala nga muno n’omulamuzi Kavuma mwe yalonkomeddwa.
Kavuma tannayitibwa kubaako kyanyonnyola ku bimwogerwako.
Steven Kulaigye Ssekanabo akola ku by’ensimbi mu Njeru Town Council naye ebintu byamwonoonekedde ssentebe w’akakiiko bwe yalagidde abaserikale be bamutwale akime ekyapa ky’ettaka eriwezaako yiika 20 z’agamba nti yazigula obukadde 45.
Kulaigye yagambye nti ettaka yaligula ku mugenzi Lukwaju mu mwaka gw’atakyajjukira kyokka nga tamanyi wa erirye we liyita n’erya faamu.
Akakiiko kalumiriza nti abanene n’abalina ssente beeyambisa Lukwaju eyatwala omusango mu kkooti ng’awawaabira famire ya Ham Mukasa nti ettaka lino lyali lya muganda we omugenzi Enock Ssebowa eyafa nga talese mwana noolwekyo ne limuddira era baateeka ssente mu musango n’okwogera n’abalamuzi omusango Lukwaju n’agusinga.
Abaali ab’okugabana kwaliko omulamuzi Kavuma, Kulaigye, Rajab Kasule, James Muliira omusaveya Kayemba, Isma Kabuuza n’abaana be abasatu abasembayo.