OMULAMUZI OMUSANGO GUGOBE KUBA TWASAMBA NABO OMUPIIRA – UPDF

Oludda oluwolereza eggye lya Uganda People’s Defence Forces – UPDF mu musango ogwawabibwa Bannamawulire abakubwa mu Kkooti Enkulu lwataddeyo omupiira ogwazanyibwa wakati w’abakulu mu maggye wamu n’Abakulira emikutu gyebyempuliziganya nga 17-April-2021 nga obumu ku bujulizi bwabwe Kkooti Enkulu kwebeera esinziira okugoba omusango okuguvunaanibwa omu ku baduumizi mu ggye.
UPDF esabye Kkooti Enkulu mu Kampala ekirize ensonga bazimalire ebweru wa Kkooti nga bayita mukutabagana. Munnamateeka omulwanirizi w’eddembe Steveni Kalali yawawabira Gavumenti ku lwa Bannamawulire abakubwa abasirikale. Ku bano kuliko; John Cliff Wamala (NTV), Josephine Namakumbi (NBS TV), Shamim Nabakooza owa Record TV, Henry Ssekanjako ne Timothy Murungi owa New Vision, bawawabira Gavumenti wamu ne Lt. Col Napoleon Namanya, Director of Operations Military Police olw’ebyo ebyabatuusibwa abasirikale ba UPDF bwebaali bakola omulimu gwabwe Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bweyali atwala okwemulugunya kwe ku kitebe ky’eddembe ly’obuntu ekya United Nations Human Rights nga 17 February, 2021.
Okusinziira ku kirayiro kya Munnamateeka wa UPDF Chief of Legal Services, Brig. Godard Busingye, yakirizza nti amaggye galinyirira eddembe lya Bannamawulire era bwerityo neritandika ku nkola y’okutabagana ne Bannamawulire omwali n’omupiira.
Busingye ayongerako nti ddala kituufu abasirikale baabwe basukka webalina okukoma nga tebaweereddwa lukusa okuva mu bakulu mu maggye nebayisa bubi Bannamawulire.
Leave a Reply