Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Asuman Muhumuzza alagidde Uganda Police Force okuwa Obed Kamulegeya emotoka ya Rt. Col. Dr. Kizza Besigye nnamba UAK 773F gyebasika Poliisi bweyali emukwata mu Kibuga Kampala emyezi 4 egiyise kuba yawandiisibwa mu mannya ge.
Wabula omuwaabi wa Gavumenti Ivan Kyazze abadde akiwakanya nga agamba nti Munnamateeka Erias Lukwago yalemereddwa okuleeta obujulizi obulaga nti emotoka ya Dr. Kizza Besigye ngalina okubulaga Poliisi nga tenamuwa motoka.
Ono asinzidde ku musirikale wa Poliisi akola kukunoonyereza eyategeezezza nti emotoka yawandiisibwa mu mannya ga Obed Kamulegeya.