Jjajja w’Obusiraamu Omulangira Dr. Kassim Nakibinge ayogedde ku Mulangira Golooba ng’omuntu abadde omwegendereza ennyo mu byonna by’akola ate mwesimbu ddala.
Ategeezezza nti newankubadde ono yasiramuka ebbanga si ddene emabega, kyokka abadde afaayo nnyo okusoma n’okuyiga ebikwata ku ddiini busiraamu bwatyo amusabidde Allah amusaasire byonna ebyamusobako.
Omulangira Nakibinge agamba nti omubuze atawanyiziddwa nnyo obulwadde, era yebazizza bonna abamujjanjabye okulaba nti obulamu buwangaddeko okutuusa Allah lweyamujjuludde.
Wano w’asabidde abantu okuyisa obulungi bannaabwe n’okulongoosa mu maaso g’Omutonzi waabwe kubanga okufa kwa buli omu ate nga tewali amanya kiseera kye.
Bya Nasser Kayanja
#ffemmwemmweffe
Omulangira Golooba abadde mwegendereza nnyo – Dr. Nakibinge
