Nabbambula w’omuliro akutte ekizibu kya Ham Shopping Mall ku Nakivubo Complex enkya yaleero asanyizzaawo ebintu bya bukadde nabukadde. Omuliro ogutanategeerekeka kweguvudde gukutte omwaliiro goumanyiddwa nga ‘Block N’ nga gusanyizaawo amadduuka 8 ag’engoye n’ebyalaani. Abantu bagezezaako okulwanyisa omuliro guno wabula nga buteerere.