Sipiika wa Nakawa Division Urban Council Luyombya Godfrey avuddeyo nategeeza nga mu kiro ekikeesezza olwaleero ku luguudo lwa AMKA e Mutungo gyasanze ekibinja ky’Abantu ababadde basobeddwa oluvannyuma lw’omuntu waabwe okubafiirako ku kubo bwebabadde batambula okudda awaka. Musinguzi Mathias Babu 52, yakutukidde mu kubo bwabadde atambula ne banne okudda awaka mu kiro.
Luyombya agamba nti addukidde ku Poliis eri okumpi okugisaba obuyambi wabula nebamutegeeza nti tebalina mafuta mu motoka. Yeyongeddeyo ku Poliisi ya Jinja Road nti nabo nebamutegeeza ekintu kyekimu bwatyo nagula amafuta nagateeka mu motoka ya Poliisi okutwala omulambo mu ggwanika.