Omuntu omu yeyakafa #COVID-19 mu Yuganda

Ministry of Health evuddeyo netegeeza olunaku olwaleero nga Yuganda bwefunye omulwadde wa #COVID-19 asoose okufa nga omuwendo gwabo abakakwatibwa baweze 1079. Afudde mukyala wa myaka 34 nga abadde mukoze wa Disitulikiti y’e Namisindwa okusinziira ku Dr. Henry Mwebesa.

Ono yasooka nalaga obubonero okwali omusujja, ekifuba ekikalu, omutwe n’obuzibu mukussa era naddusibwa mu ddwaliro lya Wasungui HC II ku lwokusatu nga 15 – July, 2020 najanjabwa obulwadde bwa pneumonia.

Wabula ku bbalaza nga 20-July-2020 yakyuusibwa natwalibwa mu ddwaliro lya Joy Hospice e Mbale nateekebwa yekka mu waadi y’abakyala nafa ku lw’okubiri nga 21-July-2020 ku ssaawa munaana nga bukya naziikibwa olw’okuna nga 23-July-2020.

Dr. Mwebesa agamba nti mu alipoota eyasoose balaze nti omugenzi teyabadde Munnayuganda wabula oluvannyuma lw’okunoonyereza kyazuuliddwa nti ono Munnayuganda enzaalwa y’e Manafwa, Bubulo East, Namabya-Namunyali- Sisongofwa.

Ebyavudde mu kukebera omulambo byalaze nti ddala ono yafudde COVID-19 oluvannyuma lw’okukeberebwa mu Laboratory 4 okuli; UVRI, CPHL, Tororo ne Makerere. Wabula era kyazuuliddwa nti abadde n’ekirwadde kya Pneumonia eky’amaanyi.

Abantu 30 abagambibwa okusisinkana n’omugenzi bebakafunibwa era nga bali mu quarantine nga ku bano kuliko ab’enganda wamu n’abasawo.

Leave a Reply