Police y'e Mityana ekutte omuserikale waayo abadde akulira Police post y'e Kakindu n'abantu abalala mukaaga (6) nga bano kigambibwa nti beekobaana ne bateega Loole eyali y'ettise emmwanyi z'omusuubuzi omu nebazibba ku mudumu gw'emmundu.
Omuserikale akwatiddwa ategeerekese nga Ssegawa Daniel n' abalala 6 nga bano kigambibwa nti baliko emmotoka eyali etambuza emwaanyi z'omusubuzi TUMUHIMBISE GENEVA gyebaateega ku mudumu gw'emmundu nebgibbako emwanyi ensawo kikumi mu ataano 150 nga bano baagiteeegera ku kyalo Wabikere ekisangibwa mu ggombolola y'e Kassanda mu Disitulikiti y'e Mubende.
Kyokka bano mmotoka olwamala okugiwamba nebagivuga yogaayoga nga bali ku kyalo Kakindu era nebatikkulako emmwanyi zonna.
Ssekamwa wa Police mu kitundu ekya Wamala, Norbert Ochom akakasizza okukwatibwa kwa OC n'ebanne nga bano bantu ba bulijjo.