Ennaku esaanikidde abatuuze ku kyalo Buyiiya mu Disitulikiti ye Mubende , omusajja bw’agudde ku katabani ke ak’emyaka 12, n’akakuba emiggo egikatutte ekalannamo.
Kyambadde Jimmy myaka 40, asanze katabani ke Ssenyonjo Aloysious nga katambuddeko , era bwekakomyewo kitaawe waako n’akakuba mizibu mbu tekalina kutaayaaya ku kyalo .
Enduulu bw’evuze ennyo abatuuze ne bajja okudduukirira , nebagezaako okuddusa omwana ono mu ddwaliro lya Gavumenti e Mubende bw’atyo n’afa nga bamutuusa mu ddwaliro.
Aduumira Police mu bitundu bya Mubende , Alex Wabwire akakasizza kino era n’omusajja akwatiddwa nga kati atemeza mabega wa mitayimbwa.