Police e Nakaseke eri ku muyiggo gwa musajja agambibwa okusobya ku bbujje lya mwaka gumu n’ekitundu n’amalamu omusulo .
Agavaayo gagamba nti Omusajja ono atannategeerekeka mannya yazze mu maka ga Kanywannyi agasangibwa ku kabuga k’e Ssemuto n’asitulawo omwana ono bw’atyo n’amutwala mu nsiko n’amusobyako era n’amulekayo .
Bazadde b’omwana ono wamu n’abatuuze bakedde ku muyiggo era nebamusanga mu nsiko , wabula bagobye omusajja ono nebalemererwa era Police egamba nti etandikiddewo omuyiggo ku musajja ono .