Wabaddewo akajagalalo mu Ppaaka ya Takisi e Masaka omusajja bwaleese omulambo nagusuulira abakulira Takisi mu kibuga Masaka ababadde bakutte emotoka ye.
Ivan ssali nga muvuzi wa takisi ku luguudo lwa Jinja – Kampala yasudde omulambo gw’omwna we omuto mu Ppaaka oluvannyuma lwabakulira Takisi okukwata emotoka ye ngono babadde bamuteerebereza okuba nga atikka abasaabaze ng’okumukwata bamusanze mu Nakayiba mu kabuga k’omu Nnyendo webatunda kkeesi z’abafu.
Aba Ttakisi nga bakulemberwamu omuvubuka ategerekeseko erya Muyi bebakutte emotoka ya Ivan, nga agamba nti akanze kwewozaako nga buteerere okukakana nga baleese kasiringi egisike.
Ssali alabye embeere egaanye olwo nafuna owa booda booda amutudde ku kyalo Vvuma awabadde omulambo gw’omwana we naguggyayo naguleeta nagubasuulira mu Ppaaka olwo abantu nebabuna emiwabo.
Abantu ab’enjawulo bavuddeyo nebalangira abakulira Ttakisi mu Masaka okweyisa obubi.