Minisitule y’ebyobulamu ekakasizza nga ekirwadde kya Ebola bwekitugumbudde omusawo omulala olwaleero nga kireetede omuwendo gw’abaakafa okulinnya okutuuka ku 10.
Okwogera bino Minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng Ocero abadde akwasibwa ebikozesebwa mu kutangira okukwata ekirwadde kino ab’ekitongole ki World Health Organization (WHO) ne USAID – US Agency for International Development ku Minisitule y’ebyobulamu wano mu Kampala.