Omusawo ow’ekinnansi agambibwa okusaddaaka omwana omulenze wa myaka 5 agombeddwamu obwala n’atwalibwa ku Police y’e Rakai.
Omusawo ono abadde ayitibwa Galabuzi naye nga yakwatiddwa eyo mu Disitulikiti y’e Mbarara ng’adduka egende e Kasese yeekukume.
Galabuzi okugombebwamu obwala kiddiridde ansasagge eyali kibuga my’ Kyotera ssabbiiti ewedde, omwana Yona Mubiru bweyasangibwa nga atemeddwako omutwe nga n’omusaayi baagulembese.
Awo nno okuva olwo, Police ebadde ku muyiggo okutuusa lwefunye Galabuzi ng’amalamu omusulo. Wetwogerera nga ono akuumirwa ku Police e Rakai nga n’omuyiggo ku balala bwegutojjera.