Hellen Acham, ng’abadde ku alimanda mu kkomera lya Gavumenti ery’ Oyam eyasibwa olw’okuteeberezebwa okutemula bba e Lira, y’atolose mu kkomera,
Achan yasooka kusindikibwa ku alimanda mu kkomera ly’e Lira mu mwezi gwomunaana wabula oluvannyuma n’akyusibwa okuzzibwa ku kkomera ly’e Oyam mu mwezi gwokuna omwaka guno.
Ofiisa Ritah Matuka nga ono y’avunaanyizibwa ku basibe abakazi mu kkomera lino agambye nti Achan yatolose lwakuna lwa ssabbiiti eno ssaawa musanvu ez’emisana ng’okukebera omuwendo gw’abasibe kuwedde, Achan ateeberezebwa okuba nga yawalampye ekisenge emabega w’ekkomera n’ayotta.
Matuka ayongeddeko nti abatuuze baabawadde amawulire nti Achan ng’amaze okutoloka, ekyambalo ky’ekkomera yakyeyambuliddemu ku kyalo Obangangeo ekiri mu ggombolola y’e Acaba nga kino kyesudde Kilomita nga musanvu gwokka okuva ku kkomera lye Oyam bwatyo neyeezingirira leesu olwo n’amalamu omusulo.
Bo abaserikale b’ekkomera nga bayambibwako Police baatandise dda okuwenja Achan obuseenene.