Omusibe yeetugidde mu kaduukulu ka Police – Kyamuliibwa

 

Abaserikale ku Police Post emu mu Disitulikiti y’e Kalungu bakubiddwa ekikangabwa enkya ya leero bwebagenze okuzuukuka nga waliwo omusibe eyeetugidde mu kaduukulu.

Omugenzi abadde amanyiddwa nga Mukasa John ow’emyaka 32 yagombeddwamu obwala eggulo ng’agambibwa okuba nga yakkidde ennyumba ya muganda we n’agiteekera omuliro.

Omwogezi wa Police mu maserengeta ga Yuganda, Lameck Kigozi akakasizza enjega eno era n’agamba nti yagudde ku Police y’e Kyamuliibwa. 

Leave a Reply