Kkooti y’amaggye ey’ekibinja ekisooka etuula e Kakiri ngekubiriziddwa Sam Mugenyi, olunaku olwaleero ewadde omusirikale wa LDU Ssali Mustafa ekibonerezo kyakusibwa emyaka 35 lwakutta Ibrahim Kileevu mu kwekalakaasa okwaliwo mu November 2020. Ssali yali wa LDU ng’akolera ku Poliisi y’e Wandegeya.